Psalms 87

Zabbuli ya Batabani ba Koola. Oluyimba.

1Atadde emisingi gye ku lusozi olutukuvu.
2 a Mukama ayagala emiryango gya Sayuuni
okusinga ennyumba zonna eza Yakobo.

3 bEbintu eby’ekitiibwa bikwogerwako,
ggwe ekibuga kya Katonda.
4 c“Mu mawanga ge mmanyi mwe muli Lakabu,
ne Babulooni;
era ndyogera ku Bufirisuuti, ne ku Ttuulo
ne ku Esiyopya nti, ‘Ono yazaalirwa mu Sayuuni.’ ”
5Bwe baliba boogera ku Sayuuni baligamba nti,
“Ono n’oli baazaalirwa omwo,”
n’oyo Ali Waggulu Ennyo alikinyweza.
6 d Mukama aliwandiika mu kitabo bw’ati,
omuli amannya g’abantu nti, “Ono yazaalibwa omwo.”

7 eBanaakubanga ebivuga nga bwe bayimba nti,
“Ensulo zange zonna ziri mu ggwe.”
Copyright information for LugEEEE